Musanvu basindikiddwa e Luzira olw’okusansa kasasiro mu kibuga
Kkooti olwaleero eriko abasajja musanvu b’esingisizza omusango gw’okujamawaza ekibuga.
Kkooti etuula ku kitebe kya Kampala Capital City Authority olwaleero eriko abasajja musanvu b’esingisizza omusango gw’okujamawaza ekibuga era bataano ku bo n’ebasindika e Luzira beebakeyo emyezi esatu.
Abantu bano baakwatiddwa mu Kampala nga basansa kasasiro, aba KCCA nebabakwata.